Bakadino olunnaku olwaleero, lwe bagenda okuyingira ekisenge ekyenjawulo e Vatican, mwebagenda okulondera Paapa, agenda okudda mu bigere by’omugenzi Paapa Francis.

Paapa agenda okulondebwa mu Vatican agenda kuba  Paapa wa 267.

Paapa Francis yafa nga 21, April, 2024 ku myaka 88 nga yali yakamala ku ntebe emyaka 12.

Bakadino 133, bebagenda okulonda era mu kiseera kino, basabiddwa, okukuuma ebyama.

Mu kisenge, Bakadino gye bagenda okulondera, temukirizibwamu munnamawulire yenna, kkamera, wadde ekintu kyonna ekiyinza okukwata amaloboozi oba vidiyo era tewali muntu yenna wadde akirizibwa okuggulawo eddinisa, wabula okweggalira Omutonzi okubalambika, Paapa agenda okuddako.

Mu kiseera kino mu kibuga Vatican, mulimu Bakadino abasukka mu 250 wabula abasukka emyaka 80, tebalina kukkirizibwa kulonda.

 Oluvanyuma lw’okuyingira e kisenge, bagenda kusooka ne Mmisa.

Abamu kwabo, abatunuliddwa okukwata obuyinza e Vatican kuliko

1 – Pierbattista Pizzaballa

Pierbattista Pizzaballa myaka 60 okuva e Italy.

Mu kiseera kino mukugu wa Vatican mu nsi za Buwalabu.

Yafuuka ‘Cardinal’ mu 2023.

Singa alondebwa, agenda kuba Paapa asoose okuva e Italy bukya John Paul I mu 1978.

2 – Cardinal Pietro Parolin, 70

Abadde akola ng’amyuka Paapa Francis okuva 2013.

Yabadde avunaanyizibwa ku Kereziya eziri ebweru wa Vatican, omulimu gwakoledde emyaka egiri 20

Ava mu ggwanga lya Italy.

3 – Cardinal Fridolin Ambongo, 65

Ye ssaabalabirizi w’e Kinshasa, mu ggwanga lya Democratic Republic of Congo (DRC).

Paapa Francis yamufuula Cardinal mu 2019.

Y’omu ku bantu 9 ababadde abawabuzi ba Paapa Francis

4 – Luis Antonio Tagle, 67

Okuva mu ggwanga lya Philippines.

Yafuuliddwa ‘Cardinal’ mu 2012 ku mulembe gwa Pope Benedict XVI.

Singa alondebwa, agenda kufuuka Paapa asoose okuva mu Asia.

Akulembeza nnyo abantu abaavu n’abalwadde

Mu 2013, kigambibwa yali atunuliddwa nnyo okufuuka Paapa wabula mu kiseera kino yali akyali muto okuweebwa obwa Paapa.

5 – Cardinal Matteo Maria Zuppi, 69

Okuva mu ggwanga lya Italy.

Naye akulembeza nnyo enzonga z’abaavu.

Paapa Francis yamufuula ‘Cardinal’ mu 2019.

Abadde yalondebwa Paapa Francis okulemberamu okuzza emirembe mu ggwanga lya Ukraine

6 – Cardinal Peter Erdo, 72

Okuva mu ggwanga lya Hungary.

Paapa John Paul II yamufuula ‘Cardinal’ mu 2003. Mu kiseera ekyo, yafuuka ‘Cardinal’ asinga obuto mu nsi ku myaka 50.

Yaliko Pulezidenti w’olukiiko olutwala ba ‘Bishops‘ e Bulaaya wakati wa 2006 – 2016.

Asobodde okuwandiika ebitabo eby’enjawulo ebikwata ku ddiini.

7 – Anders Arborelius, 75

Okuva mu kibuga Stockholm.

‘Cardinal’ eyasooka okuva mu ggwanga lya Sweden.

Paapa Francis yamuwa obwa Cardinal mu 2017https://www.youtube.com/watch?v=TCn8C-HsCDE&t=16661s