Poliisi y’e Wakiso, etandiise okunoonyereza ku ttemu eryakoleddwa, omwana myaka 7 bwe yawambiddwa, nazuulibwa ng’attiddwa, oluvanyuma lw’okusobezebwako.
Omwana Nalubwama Husinah, abadde mutuuze ku kyalo Mende mu ggoombolola y’e Mende mu disitulikiti y’e Wakiso, nga yabula, akawungeezi k’olunnaku Olwokubiri nga 6, May, 2025.
Omulambo gwe, gwasangiddwa mu kisenge kya Asikaali Lukonge Yusuf, myaka 40 nga gubikiddwako omufaliso era Lukonge yakubiddwa abatuuze, nattibwa n’omulambo gwe ne baguteekera omuliro mu bukambwe obw’ekitalo.
Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, Poliisi yafuna alipoota y’omwana okubula okuva eri nnyina Namutebi Shakira ku Lwokubiri ku ssaawa nga 3 ez’ekiro.
Onyango agamba nti Poliisi yasobodde okutwala emirambo omuli ogw’omwana ne Asikaali Lukonge mu ggwanika ly’eddwaaliro e Mulago okwekebejjebwa.
Mungeri y’emu Onyango avumiridde ekya abatuuze okutwalira amateeka mu ngalo era agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza – https://www.youtube.com/watch?v=F8LPleFqdJg&t=438s