Palamenti akawungeezi ka leero, esobodde okuyisa amabago 2 agaludde nga galindiriddwa era gasomeddwa omulundi ogusoose.

Gano kuliko

– Erikwata ku biyiiye erya ‘The Copyright and Neighbouring Rights 2025, eryanjuddwa Minisita w’ensonga z’amateeka Nobert Moa

– N’ebbago erikwata ku nkyukakyuka mu tteeka ly’amaggye erya ‘The Uganda Peoples’ Defence Forces 2025, eryanjuddwa Minisita w’ebyokwerinda, Jacob Oboth Oboth, erigendereddwamu, okuzaawo kkooti y’amaggye.

Mu Palamenti ebadde ekubirizibwa sipiika wa Palamenti Anita Among, amabago gombi, gasindikiddwa mu kakiiko ka Palamenti ak’ebyamateeka.

Sipiika Among alagidde akakiiko k’ebyamateeka, kakwatagane n’akakiiko k’ensonga z’ebyokwerinda ssaako n’ensonga z’omunda mu ggwanga era banguyirize ensonga ezo.

Wabula bannayuganda abamu bali mu kutya, nga bagamba nti kkooti y’amaggye, Gavumenti yandibadde ereeta etteeka nga bannamaggye bokka bebalina okutwalibwa mu kkooti y’amaggye kuba abantu babulijjo, kityoboola eddembe lyabwe – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=7s