Bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) e Mityana bakangudde ku ddoboozi olw’engeri Poliisi gye yakutte omuntu waabwe Prossy Mukisa amanyikiddwa nga Nabbosa.
Nabbosa y’omu ku bakyala abegwanyiza eky’omubaka omukyala e Mityana.
Yakwatiddwa olunnaku olw’eggulo okuva ku Emirate Hotel e Mityana.
Kigambibwa abasirikale bazze nga bali kabangali ya Poliisi nga kuliko abali mu ngoye za leeya era Nabbosa yakwatiddwa bwe yabadde yakatuuka.
Kigambibwa Nabbosa abadde yayitibwa dda ku Poliisi okuwa sitetimenti olw’ebigambo bye ebigambibwa nti bisiiga obukyayi mu bantu n’okuvvoola abakulembeze.
Olunnaku olw’eggulo, yatwaliddwa nga tewali kutegeeza ku muntu yenna.

Francis Zaake, omubaka wa Monicipaali y’e Mityana, agamba nti Nabbosa yakwatiddwa mu ngeri emenya amateeka era ebikolwa ebyakoleddwa Poliisi, ebityoboola eddembe ly’obuntu.
Ate addumira Poliisi e Mityana Steven Ojok agamba nti kituufu Nabbosa ali mu mikono gyabwe kyokka yalemeddwa okuwa ensonga yonna lwaki yakwatiddwa – https://www.youtube.com/watch?v=BrW-WutBAgE&t=2s