Ssenyonyi ne banne balangiridde

Ab’oludda oluvuganya, balayidde okusimbira ekkuli, eky’okuyisa enoongosereza mu tteka ly’amaggye okulaba nga balemesa eky’okuzaawo kkooti y’amaggye.

Wiiki ewedde, ebbago lyasindikiddwa mu kakiiko ka Palamenti ak’ebyamateeka nga kali wamu n’akakiiko k’ensonga z’ebyokwerinda ssaako n’ensonga z’omunda mu ggwanga, okulyekeneenya nga kigambibwa olunnaku olw’enkya ku Lwokubiri, lisuubirwa okudda mu Palamenti.

Wabula ab’oludda oluvuganya, bakalambidde ku ky’okutwala abantu babuligyo mu kkooti y’amaggye ku musango gwonna.

Mungeri y’emu balabudde nti ne bannamaggye, lwa butoogera, naye nabo eddembe lyabwe, lityoboolebwa.

Bano,  nga bakulembeddwamu Joel Ssenyonyi, bagamba nti byonna ebikolebwa, bityoboola ssemateeka wa Uganda mu kaseera nga waliwo kkooti za buligyo.

Mungeri y’emu bawakanya enoongosereza ku tteeka erirambika entambuza y’ebibiina by’obufuzi erya ‘Political Parties and Oragnisations Amendment Bill 2025’.

Okusinzira ku tteeka erya Political Parties and Oragnisations Act, buli kibiina kibadde kiweebwa ssente okusinzira ku muwendo gwa babaka abali mu Palamenti nga kibadde bwekityo okuva mu mwaka 2005.

Wabula mu bbago eryaleeteddwa omubaka omukyala owa Napak, Faith Nakut mulimu akawayiro akagamba nti

– Ekibiina kyonna ekifuna ssente naye nga kyagaana okwetaba mu ntiiko omuli eza Inter-party Organization for Dialogue (IPOD) ne National Consultative Forum (NCF), teri kuddamu kuweebwa ssente (okugeza NUP).

Abamu ku bawakanya etteka, bagamba nti ligendereddwamu, okukaka abakulembeze ku ludda oluvuganya okutuula bateese ku bukake ne Pulezidenti Museveni , olw’okulwana okusigala nga bafuna ssente – https://www.youtube.com/watch?v=F8LPleFqdJg&t=925s