Omusomesa Godfrey Muwumuza azziddwa ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 4, June, 2025 omulamuzi okudda okuwulira okusaba kwe, okweyimirirwa oba okuwulira emisango gye.
Muwumuza myaka 43, nga musomesa ku Kabojja Junior School, Kololo ali ku misango gy’okutigatiga omwana omulenzi, okwagala okumusobyako.
Mu maaso g’omulamuzi Ronald Kayizzi wali ku Buganda Road, Muwumuza yegaanye emisango gyonna.
Wabula oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Joan Keko and Ivan Kyazze, lugamba nti balina obujjulizi, ogenda maaso n’omusango.
Kigambibwa, yazza omusango ogwo wakati wa 4 ne 5, May, 2025, abaana webaali bava okulambula mu Western Uganda.
Kigambibwa nga bali mu kkubo, omusomesa yasaba omwana ku ttooki kyokka omwana bwe yali agimuwa, omusomesa yamukwata omukono naguteeka wansi mu bitundu bye kyama bye.
Mu kiseera ekyo, waliwo omwana omulala eyatuuka, Muwumuza kwekuswala.
Yasalawo okulondoola omwana mu mmotoka, okukola ekikolwa kye kimu okutuusa omwana bwe yasalawo okweyambisa essimu ye, okukuba ekifaananyi, kwekusindikira nnyina ssaako n’okumutegeeza embeera yonna.
Muwumuza yakwatibwa amangu ddala nga yakatuuka ku ssomero – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=20s