Aba famire ne mikwano gya Edward Ssebuufu amanyikiddwa nga Eddie Mutwe, bakulukuse amaziga, olw’embeera y’omuntu waabwe gy’alimu, bw’asabye bamutemeko wakiri emikono gyombi.
Enkya ya leero, Eddie Mutwe, akomezeddwaawo mu kkooti esookerwako e Masaka, ku misango egimuvunaanibwa.

Eddie Mutwe, yagulwako emisango gye gimu
Egyagulwa ku Achilleo Kivumbi, Grace Wakabi amanyikiddwa nga Smart-wa Bobi ne Gadafi Mugumya, abasooka okukwatibwa ne basindikibwa mu kkooti enkulu e Masaka okwewozaako
Emisango kuliko
– Okubba ssente emitwalo 20
– Okubba esweta ya munnamawulire Margret Kayondo
– Okubba amassimu ebalibwamu 730,000
– Okutuusa obulabe ku bantu okuli bannamawulire Zainab Namusaazi ne boonona kkamera ye ebalibwamu (1.5M), ssaako n’okubatisatiisa.
Bino byona, byaliwo mu disitulikiti y’e Lwengo, 8, May, 2024 ku kyalo Manja mu ggoombolola y’e Kisekka.

Wabula mu kkooti, asobodde okutegeeza omulamuzi nti bagaana okumutwala mu ddwaaliro okufuna obujanjabi, ng’olunnaku, amira obukerenda obusukka 20, okendeza ku bulumi, ekitabudde bannamateeka be ssaako ne famire ye, okuyunguka amaziga.

Bannamateeka nga bakulembeddwamu Sam Muyizi, basabye omulamuzi, wakiri Eddie Mutwe, atwalibwe e Luzira afune obujanjabi.
Bannamateeka nga bakulembeddwamu Sam Muyizi, basabye omulamuzi, wakiri Eddie Mutwe, atwalibwe e Luzira afune obujanjabi.

Mungeri y’emu basabye omulamuzi, alinde okusindika mutwe mu kkooti enkulu kuba ali mu mbeera mbi.
Wabula omulamuzi Abdallah Kayiza mukuwa ensala ye, asindise Eddie Ssebuufu amanyiddwa nga Eddie Mutwe ku alimanda e Luzira ng’eno gyagenda okuva agende mu Kkooti enkulu egenda okutandika okuwulira emisango egimuvunaanibwa . Omulamuzi era alagidde Eddie Mutwe aweebwe obujjanjabi bweyeetaaga – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=21s