Abamu ku b’oludda oluvuganya, basigadde banyivu olwa mukama waabwe mu Palamenti, Joel Ssenyonyi, okusaba sipiika wa Palamenti Anita Among bafulume, okusinga okwenyigira mu bintu ebimenya amateeka.

Enkya ya leero, baakedde ku Palamenti, nga besomye okulemesa Palamenti okuyisa etteeka lya UPDF erya ‘UPDF Amendment Bill 2025‘ ne tteeka erikwata ku bibiina by’obufuzi erya ‘Political Parties and Oragnisations Amendment Bill 2025‘.

Sipiika Among

Wabula nga bayingidde mu Palamenti, Ssenyonyi asobodde okutegeeza Sipiika Among, nti ebyayogeddwa Nampala wa Gavumenti Denis Obua, nti amateeka gombi, gagenda kuyisibwa nga bwe gali olunnaku olw’eggulo nga baakava lukiiko lwa kabondo ka NRM, tewali nsonga yonna lwaki ab’oludda oluvuganya betaba ku bintu ebimenya amateeka.

Bwatyo Ssenyonyi, asabye ba Mps bonna ku ludda oluvuganya, okufuluma okusinga okwetaba mu bintu ebimenya amateeka.

Nga bali mu Palamenti

Wabula nga batuuse ebweru, abamu ku babaka okuli omubaka omukyala ow’ekibuga Masaka, Juliet Kakande basigadde banyivu era bagamba nti bakooye abakulembeze ku ludda oluvuganya okuzanya Katemba.

Bagamba nti bwe kiba olunnaku olw’eggulo, bakaanyiza okutuula, bawakanye ensonga nga bali mu Palamenti, ate lwaki Ssenyonyi asalawo nga tewali kubebuzaako nga n’alipoota yabwe eyabatono, tennaba kusomebwa.

Wadde Ssenyonyi alagidde ababaka baakulembera okufuluma abamu babigaanye okuli Jimmy Lwanga owa NUP (Buikwe North) ne Jonathan Odur owa UPC (Erute South), Jimmy Akena UPC (Mp Lira).

Abalala olufulumye, Ssenyonyi asobodde okutuuza olukiiko lwa bannamawulire, agamba nti bagenda kuddukira mu kkooti okusobola okutaasa ensi.

Agamba nti bwe kiba nga kkooti ensukkulumu, yalagira kkooti y’amaggye okugibwawo, Palamenti okugizaawo, kimenya mateeka.

Wadde bafulumye, Palamenti esobodde okugenda mu maaso n’okuteesa ku nsonga zonna.

Amabago gombi gayisiddwa Palamenti.

Basoose n’erya

‘Political Parties and Oragnisations Amendment Bill 2025’

‘UPDF Amendment Bill 2025

Mu Palamenti, omubaka wa Kampala Central, Muhammad Nsereko agezezaako okulemesa obuwayiro okuli akagaana okutwala abantu mu kkooti y’amaggye n’okugamba nti kkooti y’amaggye eteekebwa ku ddaala lyerimu nga kkooti enkulu wabula byonna, bamuwangudde.

Wabula bagamba nti omuntu yenna okwewala okutwalibwa mu kkooti y’amaggye, alina okwewala okwesembereza ebya kkooti y’amaggye.

Ensonga oluwedde, Sipiika Among palamenti ayimiriza okumala ebbanga eritali ggere – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=21s