Amaziga, gakulukuse abatuuze n’abasuubuzi, e Wantoni mu disitulikiti y’e Mukono, Fuso namba UBB 422U, bweyingiridde aba bodaboda, abasuubuzi ssaako n’abafumba emmere ku kkubo, mu kiro, nga zigenda mu ssaawa 4.
Fuso ebadde eva mu Kampala okudda e Jinja.
Akabenje kabaddemu emmotoka endala 3 nga zonna Toyota Hiace okuli UBP 359W, UAW 042E ne UAQ 398L ne Pikipiki 5 okuli Bajaj 4 UFL 976T, UEU 698W, UDK 495B, UDZ 777A ne TVS – UFN 916P.
Kigambibwa Ddereeva, abadde agezaako okutaasa ow’ebigere abadda asala ekkubo ssaako ne mmotoka ekika kya Drone ebadde emuyingiridde, emmotoka ne mulemerera.
Alipoota ya Poliisi efulumiziddwa omwogezi wa Poliisi y’ebidduka micheal Kananura, ekakasiza nti wadde bangi abaakoseddwa, abantu 3 bebaafudde ate 10, bebatwaliddwa malwaliro okuli eddwaaliro ekkulu e Mukono okufuna obujanjabi ate emirwambo mu ddwaaliro e Kawolo okwekebejjebwa.
Emmotoka zonna ezabadde mu kabenje ssaako ne Pikipiki, byatwaliddwa ku Poliisi e Mukono, okwekebejjebwa – https://www.youtube.com/watch?v=F8LPleFqdJg