Kkooti esookerwako e Nakawa, eyongezaayo emisango egivunaanibwa Dr. Kizza Besigye ssaako ne Hajji Obeid Lutale okutuusa ku Lwokuna nga 29, May, 2025.
Besigye ali ku misango gy’okulya mu nsi olukwe n’okumanya ku misango egyo ne basirika ng’ali ne Hajji Lutale, omutuuze we Mutundwe, Makindye Ssabagabo, Wakiso ssaako munnamaggye Capt Dennis Oola myaka 48.
Mu kkooti, Besigye ne banne, bategeezeddwa nti olunnaku olwaleero, omulamuzi Esther Nyadoi ali misango gyabwe taliwo ng’abadde mu lukiiko n’omuwandiisi wa kkooti enkulu.
Omulamuzi Erias Kakooza, yatuuliddewo Esther Nyadoi era bwatyo, akoze kimu, okwongezaayo emisango okutuusa nga 29, May, 2025.
Mungeri y’emu, bannamateeka nga Besigye nga bakulembeddwamu omuloodi Ssalongo Erias Lukwago, bagamba nti bafunye okutegeezebwa nti fayiro y’emisango, eyinza okukyusibwamuko nga tekimanyiddwa oba bagenda kwongeramu bantu balala oba misango mirala.
Lukwago, agamba nti kiswaza omulamuzi okwebulankana ku lunnaku nga Besigye ne munna, balina okuyimbulwa oluvanyuma lw’okumala ku limanda ebbanga lya myezi 6 nga tebasindikiddwa mu kkooti enkulu, okwewozaako.
Lukwago ne banne okuli Martha Karua okuva e Kenya era bawakanya ekiragiro kya Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo, ekigaana kkooti ezawansi, okuyimbula omuntu yenna abadde ku limanda, ng’awezeza emyezi 6, nga kirina kolebwa kkooti enkulu yokka – https://www.youtube.com/watch?v=F8LPleFqdJg