Mbega wa Poliisi ku Palamenti Charles Twine, abadde anoonyezebwa, atwaliddwa mu kkooti ku Buganda Raoad.

Charles Twine myaka 48, Munyankole, nga mutuuze we Bukemba Cell mu Tawuni Kanso y’e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso.

Mu kkooti, atwaliddwayo ne Mitala Noah, amanyikiddwa nga Noah Mutwe, munnakibiina ki NUP, myaka 32, nga musajja Muganda, mutemi wa nnyama nga mutuuze we Kavule-Semuto, Matuga mu disitulikiti y’e Wakiso.

Mu kkooti esookerwako ku Buganda Road, ebadde ekubirizibwa omulamuzi Ronald Kayizzi baguddwako emisango 8 omuli

Kigambibwa

– Wakati wa January, 2024 – May, 2025, Twiine Charles ng’ali mu Kampala ku mikutu migatta abantu, yakuma omuliro mu Noah Mutwe, okulumba okutta Pulezidenti wa Uganda ng’akozesa Peeva n’omuduumizi w’amaggye Gen. Muhoozi Kainerugaba.

– Okutambuza ebigambo by’obukyayi nti sipiika wa Palamenti Anita Among, yakulemberamu okutta abantu e Bukedea era mbu “Rotten Human Being”.

– Okukozesa obubbi kompyuta ng’ayita ku mikutu mugatta bantu, okutegeeza nti amyuka sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa, musajja mufere, yeenyigira mu kutambuza ssente mu ngeri emenya amateeka.

– Ebigambo ebisiga obukyaayi, era mu kaseera kekamu, okweyambisa emikutu migatta bantu, okutegeeza nti Gen. Muhoozi, ‘kabizzi kasava’, ekintu ekiweebula ekitiibwa kye ng’omuntu.

Mungeri y’emu yategeeza nti Gen Birungi James, musajja mutemu ate muzzi wa misango.

Mu kaseera kekamu, yawandiika ne Abahima, batemu, ekintu ekiyinza okuvaako okutuusa obulabe ku Bahima.

– Omusango omulala Noah Mutwe ne Charles Twine nti bekobaana mu kuzza emisango.

Mu kkooti emisango gyona bagyegaanye era wakati mu kwewozaako nga bagamba nti baatulugunyiziddwa n’okusaba okweyimirira, omulamuzi abasindise Kayizzi e Luzira, nga 5, June, 2025.Noah Mutwe, agamba nti bukya awambibwa, bamuleese mu kkooti nga tewali wadde okutegeeza ku bantu be – https://www.youtube.com/watch?v=BrW-WutBAgE&t=4s