Kyaddaki eyali amyuka Pulezidenti w’ekibiina ki NUP mu Buganda, Mathias Mpuuga atongozza ekibiina ekipya.
Ekibiina ekitoongozeddwa kiyitibwa ‘Democratic Front (DF)’ nga kiri wansi w’ekisinde Democratic Alliance (DA).
Democratic Front, akabonero, bagenda kweyambisa muti, okusimba emirandira mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo ssaako n’okusimbawo abakulembeze.
Wakati mu kunoonyereza, langi z’ekibiina, bagenda kweyambisa, “Kiragala, Kachungwa, Blue ow’amazzi’.
Mu kutongoza ekibiina wali ku kitebe kya Democratic Alliance (DA) e Namirembe – Kampala, Mpuuga agamba nti balonze omuti, ng’akabonero akalaga nti tewali mbuyaga yonna eyinza kubayuuya.
Mungeri y’emu alabudde abasuubira okwegata ku kibiina kyabwe, okuba abetegefu okuteeka mu nkolam enono y’ekibiina.
Mpuuga avuddeyo ne ku nsonga y’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ne mukyala we Kataaha Museveni okwetonda.
Museveni ne Kataaha, basinzidde mu lukung’ana lw’enjiri olwatuumiddwa ‘Light Up Uganda for Jesus Mission Convention’ olwategekeddwa muwalawe Pastor Patience Rwaboogo wali ku kisaawe e Kololo, neyeetondera Obuganda ne Uganda yonna okutwaliza awamu olw’ebikyamu ebikoleddwa ebbanga ly’amazze mu ntebe.
Wakati nga basoma ekiwandiiko, Museveni ne Kataaha, basabye omukwano ogwaliwo okuddamu.
Wabula Mpuuga agamba nti Muzeeyi Museveni alina okutegeeza eggwanga, yabadde yeetondera ki, yakola ki oba yabadde asiibula bannayuganda?
MPUUGA MUSAJJA MUNNABYABUFUZI
– Yazaalibwa – 12, October, 1975 (49)
– Musajja musomesa, munnamateeka ate munnabyanfuna
– Yali omu ku bavubuka, mutandika Uganda Young Democrats (UYD) ng’ali ku Yunivasite e Makerere.
– UYD eri wansi wa Democratic Party (DP)
– Mu 1996, yali ku kampeyini ttiimu ya Paul Kawanga Ssemwogerere, eyali yesimbyewo ku bwa Pulezidenti bwa Uganda.
– Yali mubaka mu lukiiko lwa Buganda wakati 1998 – 2010.
– 2011 yalondebwa ng’omubaka wa Monicipaali y’e Masaka okutuusa 2021 ku kaadi y’ekibiina ki DP
– 2021, yaddamu nalondebwa ng’omubaka wa Nyendo – Mukungwe wansi w’ekibiina ki NUP.
– Wansi w’obukulembeze bwa Robert Kyagulanyi Ssentamu, Mpuuga yalondebwa ng’omukulembeze w’oludda oluvuganya okuva 2021 – January 2024.
– Mu Palamenti, aweereza ku bukiiko obw’enjawulo nga mu kiseera kino Kaminsona wa Palamenti – https://www.youtube.com/watch?v=zgMvL0lPzv0