Poliisi mu Kampala etandiise okunoonyereza ku muliro, ogwalese abasuubuzi nga bali maziga.
Mu bitundu bye Kinawataka, Bukoto ku luguudo lwe Ntinda-Kiwatule mu Divizoni y’e Nakawa, omuliro gwasanyizaawo emmaali y’abasuubuzi.

Abasuubuzi abalina bu kiyosiki omuli abatunda kaawa, caayi, abafumba emmere, Resitolanti n’abalala, emmaali yonna yaweddewo.
Poliisi okuva Entinda, weyatuukidde okutaasa ng’abasuubuzi bali maziga, basobeddwa eky’okuzaako ng’abangi, ssente bazeewola mu bbanka.
ASP Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti okunoonyereza, kutandikiddewo okuzuula ekyavuddeko omuliro – https://www.youtube.com/watch?v=BrW-WutBAgE&t=9s