Ebitongole ebyokwerinda okuli UPDF, bikyayongera okunoonyereza ku mukyala, eyabadde ali mu kutambuza bbomu, okulumba Basirika y’e Munyonyo, okutirimbula abantu, olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, abaakedde nga bagenda mu kitambira ky’emissa, okujjukira abajjulizi abattibwa olw’eddiini.

Webwazibidde, ng’amaggye gasobodde okutegeeza eggwanga lyonna nti omukyala abadde mutujju wansi w’akabinja ka Allied Democratic Forces (ADF) era abadde akola emirimu gye ng’akozesa amannya ag’enjawulo.

Amannya kuliko Aisha Katushabe, Byaruhanga Sumaaya, Kabonesa n’amalala nga bba Abdul Shakuru y’omu ku balumba ekitebe kya Poliisi mu Kampala ekya CPS mu Kampala mu 2021, ng’ayambadde bbomu kw’ezo ezabwatuka era mweyafiira.

Ate omusajja eyabadde avuga Pikipiki tebannaba kuzuula bimukwatako wabula kiteeberezebwa nti yandiba nga ye Yusuf Musana kubanga ennamba za Pikipiki gye beetulisirizaako bbomu, yabadde mu mannya ga Yusuf Musana.

Kati no akola ng’omwogezi w’amaggye Col Chris Magezi, agamba nti, ennaku nga bbiri eziyise, basajja baabwe baakutte omusajja wa ADF era yasobodde okuyamba okubawa amawulire ku nsonga z’okulumba okukuba abantu mu bifo eby’enjawulo omuli Munyonyo.

Col Magezi agamba nti omusajja eyakwatiddwa, yasangiddwa n’ebintu eby’enjawulo omuli amasasi n’ebintu ebirala ebikola bbomu.

Mungeri y’emu agamba nti abatujju battiddwa kuba baabadde balina bbomu nga y’emu ku nsonga lwaki baasobodde okweyambisa obukodyo obw’enjawulo okubatta, okubalemesa okuyingira Basirika – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=14s