Omulambo gwa eyali kafulu muzannyo gwa Tennis, Cedric Ndilima Babu gukomezeddwawo ku butaka okuva e Kenya gyeyafiira wiiki ewedde.

Ku kisaawe Entebe, gukwasiddwa kitaawe Capt. Francis Babu.

Omugenzi wakuziikibwa ku Lwomukaaga lwa wiiki ejja  e Kammengo Mawokota mu disitulikiti y’e Mpigi.

Cedric yafiiridde Kenya ku Lwomukaaga nga 31, May, 2025 ku myaka 46, ekirwadde ky’omutima.

Leero ku Lwokuna, olumbe lugenda kukumibwa mu makaage e Kololo ate ku Lwokutaano, omubiri gwa Cedric gugenda kutwalibwa mu kereziya e Rubaga.

Cedric era yakulemberako ekibiina ekitwala aba Tennis ekya Uganda Tennis Association.

Mu 2021, yavuganya ku ky’omubaka wa Kampala Central, wabula

Mohamed Nsereko yawangula nga yafuna obululu – 16,998

Nyanzi Fred Sentamu Nyanzi kyakubiri – 15,975.

Ate Cedric Babu Ndilima, eyali akutte kaadi y’ekibiina ki NRM, kyakusatu (3) n’obululu – 10,747 n’okuddako abalala.

Yagenze okufa nga waliwo Kampeyini, eyatuumiddwa ‘Go fund me’ okunoonya ssente emitwalo 30 egya ddoola (1.5B) okusasula eddwaaliro n’okutwalibwa mu ddwaaliro e  London, e Bungereza okulongosebwa omutima.

Bwe yafiiridde, nga bakasonda emitwalo 39,358 egya ddoola ( ssente 200M).

Wafiiridde abadde musajja mufumbo ng’alina, abaana abatamanyiddwa muwendo mu kiseera kino, okuggyako abasatu (3) abalenzi abamanyiddwa.

Cedric abadde mukwano gw’omugenzi, Rajiv Ruparelia eyafa nga 3, May, 2025 mu kabenje ku nkulungo y’e Busabala.

Mungeri y’emu abadde omu ku bawagizi b’ekisinde ki Patriotic League of Uganda (PLU).

Mu kiseera kino, omulambo guli mu maka ga Uganda Funeral Services Ltd – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=15s