Poliisi y’e Kamuli ekutte omukyala myaka 40 ku misango gy’okwagala okutta bba mu ngeri y’okumusalako ebitundu by’ekyama.
Omusajja ali mu maziga, amanyikiddwa nga Masanka Richard myaka 60, mutuuze ku kyalo Busoigo cell, Kasoigo ward mu Monicipaali y’e Kamuli.
Omukyala akwatiddwa, ategerekeseeko nga Rehema.
Okunoonyereza kulaga nti ku Lwokutaano nga 6, June, 2025 bonna nga bali waka, ku ssaawa nga 5 ez’ekiro, omusajja Masanka yagenda mu kisenge okwebaka nga yaleka omukyala ebweru.
Omukyala yayingidde mu kisenge okwagala okutuga omusajja era wakati mu kulwana, yasobodde okusala omusajja ekitundu ku bitundu by’ekyama.
Omusajja yatwaliddwa mu ddwaaliro lya Kwagala Medical Centre, Buwengempya kyokka olw’embeera mbi, yayongezeddwaayo mu ddwaaliro ekkulu e Kamuli.
ASP Kasadha Micheal, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga North agamba nti okunoonyereza kutandikiddewo okuzuula amazima.
ASP Kasadha asabye abafumbo okweyambisa abakulembeze okuyambibwa singa bafuna obutakaanya bwonna – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=18s