Poliisi etandiise okunoonyereza ku ttemu erikoleddwa, asikaali bw’asse abantu 2 naye ne bamutta.
Abatiddwa kuliko
– Noella Zella – abadde akwasaganya ensonga z’abakozi mu kkampuni enkuumi eya Ultimate Security Company
– Bwampata Salez – Abadde akuuma ekifo webateeka emmundu
– Mwaawa Richard – Asikaali asse abantu nga naye attiddwa era abadde mukuumi ku Ultimate Security Company.

Ettemu eryo, libadde ku kyalo Mbuya, Bugolobi mu Divizoni y’e Nakawa mu Kampala ku kitebe kya Ultimate Security Company.
Mu kiseera kino, Poliisi etandiise okunoonyereza ku ekivuddeko asikaali Mwaawa okutta banne.

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti mu kiseera kino, ensonga lwaki asikaali avudde mu mbeera, temanyiddwa.
Wabula abamu bagamba nti abadde abanja omusaala gwe ate nga yagobeddwa ku mulimu.
Okunoonyereza kulaga nti Asikaali yabadde agobeddwa ku mulimu ate yabadde akyabanja ssente ze.

Kigambibwa yasobodde okufuna emmundu okuva mu Basikaali abalala e Mbuya okulumba okutta nga yasoose kunywa ku mwenge.
Wabula omubaka wa Nakawa East Ronald Balimwezo agamba nti mu ggwanga lino Basikaali bafuna omusaala mutono nnyo wakati wa shs 150,000 – 250,000 nga kiswaza ate bannanyini Kampuni, okulwawo okusasula abakozi baabwe – https://www.youtube.com/watch?v=F8LPleFqdJg&t=318s