Agambibwa okuba nti yeyali akulira akabinja k’Abayeekera ba Allied Democratic Forces (ADF) Jamil Mukulu ne banne abalala baavunaanibwa nabo, baleteddwa mu Kkooti enkulu Kampala okuwuliriza okusaba kwabwe.

Jamil Mukulu ne banne bavunaanibwa emisango okuli ogw’obutujju, obutemu, okugezaako okutta abantu, okubbisa amaanyi saako okubeera mu kabinja k’Abayeekera.

Kigambibwa yeenyigira mu kutta abantu abali mu 1,000 wakati wa 1996 – 2001

Mukulu, yaddukira mu kkooti ku misango gy’okumutulugunya wabula mu kkooti, bagamba nti okukwatibwa okugibwa e Tanzania mu 2015, kyakolebwa mu ngeri emenya amateeka.

Mu kkooti, Mukulu agamba nti bw’ekiba nga emisango egimu, yagiddiza mu Kenya ne Tanzania, kkooti terina buyinza, kuwuliriza misango gye.

Bano, bagamba nti kkooti ya Tanzania yabaggulako emisango 9 egy’obutemu mu 2015 gyokka era mu Tanzania ne bategeezebwa nti teri kuddamu kubaggulako misango mirala.

Wabula mu maaso g’abalamuzi 4, Mukulu alinako byawangudde.

Jamilu Mukulu awangudde

– Okumuteeka mu kkamera ne bamukaka okwogera, kimenya mateeka ku mulembe gwa Gen. Kale Kayihura

– Okumala essaawa ezisukka 48 mu kkomera nga tewali kumutwala mu kkooti, kimenya mateeka

– Okumutwala e Nalufenya, mu kifo ekimenya amateeka, byonna byali tebikirizibwa

Gavumenti ewangudde

– Wabula kkooti egobye ekigambibwa nti babba ebintu bye omuli Camera, Dollar za America 38,000, tewali bujjulizi

– Omukuleeta mu Uganda okuva Tanzania, kkooti egamba ebitongole byokwerinda bikolagana

– Eky’okugamba nti bamukaka okulya embizzi, tewali bujjulizi

Kkooti eragidde omusango kati okuddamu okutambula nga bwe gwali.

Abalamuzi era bategezezza nti newankubadde nga ezimu ku nsonga Jamil Mukulu zeyemulugunyako ntuufu naye tezimuwa bbettu kuyimbulwa nakugibwako misango galiko olw’ensonga nti janagomola era wano abalamuzi webasinzidde okugoba okusabakwe okwokumujerezza emisango – https://www.youtube.com/watch?v=F8LPleFqdJg&t=320s