Ekitebe kya National Resistance Movement (NRM) kiwuumye nga Rebecca Alitwala Kadaga azzaayo empapula okuddamu okwesimbawo, okulaba nga akwata kaadi y’ekibiina mu kulonda okubindabinda okwa 2026.
Kadaga yazaalibwa nga 24, May, 1956, ng’abadde yakaweza emyaka 69.
Kadaga, ayagala kuddamu kwesimbawo ng’omubaka omukyala owa Kamuli mu bitundu bya Busoga ssaako n’okumyuka ssentebe w’ekibiina ki NRM omukyala.
Mu Uganda, y’omu ku bakyala abaludde mu bukulembeze, ye mukyala eyasooka, okulondebwa nga sipiika wa Palamenti, okudda mu bigere bya Edward Kiwanuka Ssekandi.
Ng’omukyala munnamateeka, yasooka kumyuka sipiika wa Palamenti okuva 2001 okutuusa 19, May, 2011, lwe yalondebwa ku kya sipiika omujjuvu, ekisanja ekyasooka okutuusa 2021, omugenzi Jacob Oulanyah lwe yamuwangula bwe yali asaba ekisanja ekyokusatu (3)
Mu kiseera kino, ye Minisita avunanyizibwa ku nsonga z’amawanga ga East Africa era ku kitebe kya NRM e Kyadondo, atuukidde mizira wakati mu bawagizi be, okusakaanya – https://www.youtube.com/watch?v=a5lT7H5bpuQ&t=6s