Mbega wa Poliisi Charles Twine, ayimbuddwa olunnaku olwaleero wabula kanyama wa Robert Kyagulanyi Ssentamu, Noah Mitala amanyikiddwa nga Nuwa Mutwe, azziddwa ku limanda mu kkomera e Luzira.
Mu kkooti, ku Buganda Road mu maaso g’omulamuzi Ronald Kayizi, Charles Twine ayimbuddwa oluvanyuma lw’omwezi gumu ne nnaku 7 ng’ali ku limanda.
Omulamuzi akaanyiza n’abantu ba Charles Twine bonna 4 baleese era ayimbuddwa ku ssente ez’obuliwo obukadde 5 ate abamweyimiridde obukadde 50 buli omu ezitali za buliwo.
Wabula Nuwa Mutwe, alemeddwa okuleeta abantu abalina ebiwandiiko ebituufu omuli ebiraga emirimu gyabwe, okugyako kitaawe yekka Henry Kawuma, asobodde okulaga nti ali mu kutunda ttaka.
Omulamuzi, amusindise ku limanda okutuusa nga 14, July, 2025 oba waddembe okuddukira mu kkooti enkulu bw’aba tamatidde.
Bonna 2, nga 22, May, 2025, mu maaso g’omulamuzi y’omu Ronald Kayizzi, Twine ne Noah Mutwe bagulwako emisango 8 nga
Kigambibwa
– Wakati wa January, 2024 – May, 2025, Twiine Charles ng’ali mu Kampala ku mikutu migatta abantu, yakuma omuliro mu Noah Mutwe, okulumba okutta Pulezidenti wa Uganda ng’akozesa Peeva n’omuduumizi w’amaggye Gen. Muhoozi Kainerugaba.
– Okutambuza ebigambo by’obukyayi nti sipiika wa Palamenti Anita Among, yakulemberamu okutta abantu e Bukedea era mbu “Rotten Human Being”.
– Okukozesa obubbi kompyuta ng’ayita ku mikutu mugatta bantu, okutegeeza nti amyuka sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa, musajja mufere, yeenyigira mu kutambuza ssente mu ngeri emenya amateeka.
– Ebigambo ebisiga obukyaayi, era mu kaseera kekamu, yasobola okweyambisa emikutu migatta bantu, okutegeeza nti Gen. Muhoozi, ‘kabizzi kasava’, ekintu ekiweebula ekitiibwa kye ng’omuntu.
Mungeri y’emu yategeeza nti Gen Birungi James, musajja mutemu ate muzzi wa misango.
Mu kaseera kekamu, yawandiika ne Abahima, batemu, ekintu ekiyinza okuvaako okutuusa obulabe ku Bahima.
– Omusango omulala Noah Mutwe ne Charles Twine nti bekobaana mu kuzza emisango – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=24s