Ku kyalo Lweza mu ggoombolola y’e Mukono Central Division mu kibuga Mukono, abatuuze basigadde mu ntiisa, omuwala bw’abadde agezaako okwetta.

Omuwala ono, Brendah Tuhaisi kigambibwa yava mu disitulikiti y’e Kamwenge era kigambibwa abadde yakadda okuva ku kyeyo.

Abadde abeera ne mukwano gwe ategerekeseeko erya Mercy wabula Mercy, naye yafulumye eggwanga, okugenda ku kyeyo e Buwalabu, kati wiiki namba.

Tuhaisi alabiddwa abatuuze ng’amaze okwesalasala emisuwa eminene nga yenna atonnya musaayi ate okutuuka mu nnyumba ng’amaze okumira amakerenda aga ‘Overdose’ okwagala okwetta.

Kigambibwa waliwo eyalya ssente ze zonna, zabadde asindika mu kiseera kyonna kyamaze ng’ali ku kyeyo.

Samwiri Kabenge akola ng’owamawulire ku lukiiko lw’ekyaalo atugambye nti bamaze okukwatagana ne Poliisi okunoonya ab’oluganda lwe kyokka nalabula bananyini mayumba okwewala okuwa ennyumba abantu abatamanyiddwa.

Abatuuze basabye Poliisi okunoonyereza ennyo okuzuula abantu bonna abazze balya ssente z’abaana abali ku kyeyo kuba y’emu ku nsonga lwaki abaana beyongedde okwetta.

Wadde omuwala yasindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mukono okutaasa obulamu, abatuuze bagamba nti omuwala Tuhaisi yetaaga obwenkanya, bwe kiba nga waliwo omuntu eyalya ssente ze – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=196s