Ekitongole ekivunaanyizibwa ku masanyalaze ekya Uganda Electricity Distribution Company Limited (UEDCL), kivuddeyo ku Tiktoker eyakwatiddwa ku misango gy’okwenyigira mu kubba amasanyalaze ssaako n’okunga abantu okwenyigira mugaba.
Kasule Brighton, myaka 27, mutuuze we Busega, mu Divizoni y’e Rubaga yakwatiddwa.
Kasule, yasobodde okukwata kavidiyo ng’alabula aba UEDCL bakomye okutwala Solido zaabwe zebakozesa okubba amasanyalaze.
Mu vidiyo, yasobodde okutegeeza nti balina Solido endala, gye bagenda okweyambisa okwongera okubba amasanyalaze.
Wabula Kasule yakwatiddwa era ayolekedde okusibwa, emyaka egisukka 12, singa emisango gimukka mu vvi.
Kasita lbrahim, omwogezi wa Electricity Regulatory Authority (ERA) agamba nti bagenda kukola kyonna ekisoboka okutuusa nga bakutte abantu bonna abeenyigidde mu kubba amasanyalaze – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=196s