Poliisi mu Kampala, ewezezza omuwendo gw’abasibe 18, abagambibwa okuba mu ggaali y’ababbi, eyatigomya abantu omuli n’abatambuze, wiiki ewedde ku Lwokuna ku lunnaku bannakibiina ki National Resistance Movement (NRM) nga balonda abakulembeze abagenda okulemberamu ekibiina mu kulonda kwa 2026 ku bukiise bwa Palamenti.

Mu kusooka, Poliisi yakwata abantu 8 wabula eyongedde nekwata abalala 10 omuli
- Were Phillip
- Lubwama Sharif
- Wasike Patrick
- Ngobi Brian
- Mugisha Shafiq
- Rashid Sebisaba
- Ochwo Emmanuel
- Kakooza Abdul Rakim
- Ominga Brian
- Katongole Meddy a.k.a. Baros
Kigambibwa, bebaali mu ggaali eyaleka abatuuze b’e Kabalagala mu Makindye nga babiddwa.
Eggaali yalimu abantu abasukka 50 okuva Kibuli okudda e Kabalaga, Kansanga – Ggaba era okubba yatandikira Tirupati Mazima Mall.
Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti ebikwekweeto, bikyagenda mu maaso era abakwate abali ku Poliisi e Kabalagala – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=196s