Essanyu libugaanye abakulembeze ssaako ne famire ya Mitala Noah amanyikiddwa nga Noah Mutwe, omulamuzi wa kkooti esookerwako ku Buganda Road Ronald Kayizzi, bw’akirizza okusaba kwe, okweyimirirwa.

Noah Mutwe yakwatibwa ku misango gye gimu ne Mbega wa Poliisi ku Palamenti Charles Twine, eyasooka okuyimbulwa kakalu ka kkooti.

Noah Mutwe ayimbuddwa

Bali ku misango 8  omuli

– Okusiiga obucaayi, okutambuza amawulire ag’obulimba nga bayita ku mitimbagano ku bakulembeze b’enjawulo omuli Gen. Muhoozi Kainerugaba, sipiika wa Palamenti Anita Among, amyuka sipiika Thomas Tayebwa n’abakulembeze n’abalala, okwagala okutta omukulembeze w’eggwanga lino nga beyambisa Ppeeva.

Mu kkooti, Noah Mutwe asabiddwa ssente obukadde 5 ez’obuliwo ate abamweyimiridde obukadde 50 buli omu ezitali za buliwo.

Omulamuzi Kayizzi era agamba nti Noah Mutwe abadde aludde ku limanda okuva nga 22, May, 2025, ng’abadde alina okuyimbulwa wadde singa abadde alemereddwa okufuna abantu abatuufu abayinza okumweyimirira.

Okuyimbulwa kwe, kukyamudde famire ye omuli

– Kitaawe  – Kabuubi Henry

– Nnyina  – Lunkuse Harriet

– Mukyala we  – Babirye Marion, agamba nti engeri gy’abadde amusubwa, agenda kutandikirawo, okumukyamula.

BYTE…………VIDIYO

Wadde ayimbuddwa, abakulembeze omuli

Joel Ssenyonyi – Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti

David Lewis Rubongoya – Ssaabawandiisi wa NUP

Samuel Muyizi – Munnamateeka wa Noah Mutwe

Bagamba nti wadde Noah Mutwe ayimbuddwa, ssente obukadde 5 nakyo kityoboola eddembe ly’obuntu.

Bano, basabye abalamuzi bekube mutima ku bantu abasabwa ssente bw’ezityo ng’abangi bakola mmere ya leero – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=221s