Amyuka Chansala ku Kampala Yunivaasite, Prof Badru Kateregga era nga ye nannyini, akiikidde ensingo, ekitongole ekya Poliisi, obutafaayo ku nsonga za mukyala we Jolly Kateregga, ezifuuse akayinja mu ngatto.
Prof Kateregga ne mukyala we Jolly, baludde nga balina obutakaanya, ekyavaako ne Prof Kateregga, okulumirizza omukyala okwagala okumutta.
Wabula, Prof Kateregga agamba nti ensonga zaabwe, yazitwala dda eri akulira ekitebe ekya poliisi ekinoonyereza ku misango, Tom Magambo, okulaba nti banoonyereza, wabula, tewali kyali kikoleddwa, nga balinga abalinze attibwe, batwale n’okugabana ebintu bye.
Bino byonna okubyogera, abadde wali ku Kampala Yunivaasite e Ggaba era agamba nti avuddeyo bannayuganda okutegeera ensonga ze okusinga okulinda okuttibwa.
Agamba nti mukyala we Jolly, yali muyizi ku Kampala Yunivaasite mu 2012 nga kiswaza okugamba nti y’omu ku bazimba Yunivaasite.

Alumirizza nti kati mukyala we Jolly alina abantu abakyamu “Bamafiya’ abali mu nsonga zaabwe ssaako n’abamu mu kitongole ekya Poliisi abali mu kwekobaana okutwala ettaka okuli Yunivaasite.
Mu kiseera kino alina emyaka 76, agamba nti omukyala Jolly, ayongedde okubba ebintu bye ebiri mu buwumbi omuli emmotoka wabula abakulu mu kitongole ekya Poliisi abalina okumuyamba okukwata mukyala we kuba kati mubbi, tebafudeeyo.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke agamba nti ensonga za Prof Kateregga zaggwa dda okunoonyerezaako era omuwaabi wa gavumenti n’abawa amagezi okuggulawo omusango mu kkooti.
Awakanyiza ebigambibwa nti tayambiddwa Poliisi – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A