Poliisi e Nansana eri mu kunoonya abazigu, abayingiridde omukyala owa Mobile Money ne bamutungatunga ebiso, ekyavuddeko okufa.

Omukyala ono, Kyamazima Rose, yalumbiddwa ku ssaawa 3:40 ez’ekiro ku kyalo Nansana East I ‘B’ e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso.

Abasajja bazze nga bali 3 nga bali ku Pikipiki ne batwala kaadi ya ATM, amassimu ga Smart Phone 2 ne ssente ezitamanyiddwa omuwendo.

Kigambibwa, Kyamazima yabadde yakava mu bbanka okuteekayo ssente ng’akozesa kaadi ya ATM era wakati mu kudda awaka ng’ali ku Pikipiki, abazigu, kwekubazingako.

Owa Pikipiki, yasobodde okudduka okwetaasa abazigu wabula n’omukyala Kyamazima, wakati mu kwagala okudduka, yafumitiddwa ebiso, nafuuwa omusaayi okutuusa lwe yafudde.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, wadde abatemu badduse baliira ku nsiko, okubanoonya ku kyagenda mu maaso nga n’omulambo gwasindikiddwa mu ggwanika e Mulago, okwongera okwekebejjebwa – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=1s