Abatuuze n’abakulembeze ku kyalo Kyetume mu ggoombolola y’e Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono, balina essuubi ly’ababbi, okendera mu kitundu kyabwe, olwa Poliisi y’e Mukono ng’eyambibwako Poliisi y’e Kyetume, okukola ekikwekweeto, ne bakwata Mwanje David myaka 35.

Mwanje, abadde mupangisa ku kyalo wabula mu kwekebejja akazigo ke, Poliisi esobodde okuzuula

– Batuuni ya Poliisi

– Ekyambalo ky’amaggye

– Ekyambalo kya Poliisi

– Omusupi gw’amaggye

– Engatto z’amaggye ne jjaketi

– Empingu

– Ejjambiya

– Emiguwa

– Ennyondo ssaako n’ebintu ebirala.

Mwanje mu kwewozaako, agambye nti yali mukuumi mu kitongole ky’amaggye ekya NEC ssaako ne LDU okutuusa mu December, 2024.

Mungeri y’emu agamba nti bwe yali amuwuzibwa, bamutegeeza nti wakuyitibwa okuleeta ebyambalo by’amaggye  ne Poliisi kyokka okuva olwo, abadde alinda ssimu yabwe.

Mwanje alemeddeko, agamba nti bino byonna, kivudde ku ssengaawe Nabirye Esezza okuva e Luuka, eyatunda ettaka yiika 9 ku ssente obukadde 25 kyokka bwe yavuddeyo okulemesa abagula ettaka, ne bamutegeeza nti bagenda kumusiba oba okuttibwa.

Ate abakulembeze ku kyalo, bagamba nti obubbi, bubadde busukkiridde nga n’abatuuze batya okutambula obudde obw’ekiro.

Bano okuli Ssentebe w’ekyalo Male Julius ne ssentebe wa LC 2 Ssenkumbi Samuel, bagamba nti okukwatibwa kwa Mwanje, kugenda kuyamba okukendeza ku bubbi.

Ate ku Poliisi, wabaddewo omusajja Kiboole John avuddeyo okulumiriza Mwanje nti nga 20, July, 2025, yatemyetemye omutuuze Tirurabira Housi, omutuuze ku kyalo Namwenda e Luuka, bwe yamusanga mu samba ly’emiti – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A