Poliisi mu Kampala erangiridde ebikwekweeto ku bifo ebisanyukirwamu ebireeta abaana abato okuzina ebimansulo ssaako n’okwetundira mu bifo byabwe.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, Poliisi eyongedde okufuna amawulire agalaga nti waliwo ebifo bingi omuli ebbaala, eziraga nti zireeta abawala abato okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo, okukola mu bbaala mu ngeri emenya amateeka.
Rusoke agamba nti mu Uganda, kimenya mateeka omwana yenna omuto wansi w’emyaka 18, okutwalibwa okuzina ebimansulo oba okwetunda.
Mu kiseera kino, Rusoke agamba nti ttiimu y’ebitongole byokwerinda etandiise okwekeneenya ebifo eby’enjawulo mu Kampala, okulaba nga bazuula ebifo, ebyongedde okumenya amateeka. Kigambibwa ebimu ku bifo, bisangibwa mu Makindye ne Kampala wakati – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A