Abatuuze ku kyalo Kiganda e Kawempe, bakyali mu kiyongobero, oluvanyuma lw’okuzuula emirambo gy’abaana, abafiiridde mwala, oguli mu kitundu kyabwe.
Ku Mmande, ku ssaawa nga 7 ez’emisana, mu nkuba eyali efuddemba, amazzi gatwala omwana Nakawuki Regina Gift ow’emyaka 5 bwe yali agezaako okutaasa Ambuleera eyali atwaliddwa amazzi.
Kigambibwa mu kiseera ekyo, nnyina Justine Gwambale yali ayoza ngoye ate nga kitaawe Ssali Emmanuel yabadde ku mulimu.
Wabula mu kunoonya omulambo gwa Nakawuki, abatuuze bagamba nti baasobodde ate okuzuula emirambo gy’abaana 2
okuli
– Omwana ali mu myaka 17 nga mulenzi
– Omwana ali myaka 5 nga muwala
Ate omulambo gwa Nakawuki gwazuuliddwa abatuuze nga bali wamu n’abakozi mu kitongole ki KCCA, olunnaku olw’eggulo e Nakidokolo mu ggoombolola y’e Nabweru e Nansana.
Wabula wakati nga Poliisi ekyanoonyereza ku nsonga ezo, Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, alabudde abazadde ku nsonga y’okutangira abaana okuzanyira mu nkubba mu biseera by’enkuba n’okusingira ddala abatuuze abali okumpi n’emyala – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=91s