Ebbugumu lyeyongedde, mu kwetegekera empaka za CHAN 2024, ezitandiika ku Lwomukaaga, nga Uganda yakuyingira ensike ne Algeria wiiki ejja ku Mmande nga 4, August, 2025 mu kisaawe e Namboole.
Ku nsi 19 eziri mu CHAN 2024, Uganda erina okukyaza ensi 5 mu kibinja C omuli Algeria, Guinea, Niger ne South Africa.
Uganda erina okukyaza emipiira 12 mu nnaku 8 okuli – – Emipiira 9 egy’ebibinja
– Omupiira ku Quarter Final
– Omupiira gumu ku Semi-Final
– N’okunoonya akwata ekyokusatu
Mu mbeera y’okutumbula empaka zino, Gavumenti esobodde okuwa FUFA akawumbi kamu (1B) okulanga emipiira gya CHAN mu ggwanga lyonna.

Ku ssente ezo, balina okweyambisa TV, Radio, emikutu migatta bantu, ebizindaalo n’emikutu gyonna egiyinza okuyamba, okutunda CHAN eri bannansi.
Okusinzira ku lukiiko olutesiteesi olwa CHAN mu Uganda, CAF tennaba kusaawo ngeri yonna ey’okutunda Tiketi mu kifo kyonna, okuggyako okweyambisa omutimbagano.
Okusinzira ku bisale
– Ordinary – Shs. 10,000/= per day.
– Silver – Shs. 30,000/= per day.
– Premium – Shs. 50,000/= per day
Okusinzira ku lukiiko oluteesiteesi nga lukulembeddwamu omwogezi waabwe Dr. Dennis Mugimba, buli tiketi eraba emipiira 2 wabula singa omuntu yenna afuluma ng’omupiira ogusooka guwedde, alina kuddamu kugula tiketi ndala, okusobola okulaba omupiira Ogwokubiri.
Yo Poliisi, erabudde abasuubira okwenyigira mu kuleeta effujjo omuli n’abakyala abasuubira okunamira abantu mu nnyambala yaabwe, okweddako.Kituuma Rusoke, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, akambuwadde ku nsonga ezo – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=91s