Bannakibiina ki Forum for Democratic Change (FDC) bagamba nti balina essuubi nti mu 2026, balina okutwala obwa Pulezidenti bwa Uganda.

FDC olunnaku olw’eggulo, yalangiridde ssaabawandiisi w’ekibiina Nathan Nandala Mafabi okukwata kaadi y’ekibiina ku bwa Pulezidenti mu kulonda kwa 2026.

Wadde Amuriat Patrick Oboi yalondebwa nga Pulezidenti w’ekibiina, FDC yaleese Mafabi, okubatuusa ku buwanguzi.

Nathan Nandala Mafabi yazaalibwa e Sironko nga 17, January 1966 nga musajja munnamateeka, mubalirizi wa bitabo ate mubaka wa Palamenti e Budadiri West mu disitulikiti y’e Sironko.

Okuva May, 2011 – January 2014, yali akulira oludda oluvuganya mu Palamenti y’eggwanga.

Mafabi ne Amuriat

Yasooka okwesimbawo mu 2001 ng’omubaka wa Palamenti e Budadiri West era okuva olwo, abadde awangula.

Bannakibiina ki FDC bagamba nti Mafabi alina buli kimu ekyetagisa okuwangula obwa Pulezidenti bwa Uganda.

Kinnajjukirwa nti mu kulonda okuwedde, FDC yaleeta Amuriat ku bwa Pulezidenti era yakwata kifo kyakusatu (3).

Yoweri Kaguta Museveni owa National Resistance Movement (NRM) yawangula okulonda n’obululu 6,042,898 (58.38 ku 100), Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) owa National Unity Platform (NUP) yakwata kyakubiri n’obululu 3,631,437 (35.08 ku 100) ate Amuriat yakwata kyakusatu n’obululu 337,589 (3.26) ku bantu 11 abaali besimbyewo.

Kigambibwa, Amuriat okukola obubi nnyo mu kulonda okuwedde, y’emu ku nsonga lwaki FDC yakooye okuswala, nga balina okuleeta omuntu omulala.

Mu kiseera kino, ebiriwo biraga nti Mafabi agenda kuvuganya n’abantu ab’enjawulo omuli Yoweri Kaguta Museveni owa NRM, Kyagulanyi owa NUP, Maj Gen (rtd) Mugisha Muntu owa Alliance for National Transformation (ANT) n’abalala – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=91s