Poliisi ekutte Landiloodi Stella Acholar, ayambeko mu kunoonyereza ku misango gy’okubba ebisolo ku kyalo omuli Ente, embuzzi, embizzi, enkoko ebirala.
Landiloodi Acholar okukwatibwa, kidiridde abatuuze ku kyalo Bwefulumya e Namawojjolo mu ggoombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono, okuzingako ekikomera kye ne bazuula ekinya, abapangisa be, mwe baludde nga baziika emitwe gy’ebisolo ebibiddwa oluvanyuma lw’okusalibwa.
Abatuuze webatuukidde nga abapangisa badduse dda, kwe kuyita Poliisi y’e Mbalala ekutte Landiloodi.
Abatuuze, bagamba nti mu kitundu kyabwe, ababbi babadde beyongedde obungi nga batwala ebisolo byabwe era nga bangi bakooye okulunda.
Kigambibwa, waliwo omusuubuzi ategerekeseeko erya Fred, agambibwa okusuubula ennyama y’ente ezibiddwa.
Laadiloodi akwatiddwa, okuyambako Poliisi mu kunoonyereza ku bigambibwa nti alinako kyamanyi oba n’okutegeeza Poliisi ebikwata ku bapangisa, abadduse mu kiseera kino – https://www.youtube.com/watch?v=ewB5PledrA0