Ekitongole ki Kampala Capital City Authority (KCCA) kifulumizza alipoota wetuuse ku nsonga y’okusasula abantu b’omu Kiteezi, omuli
– Abaabuutikirwa Kasasiro
– Enju ezamenyebwa nga bagezaako okutaasa obulamu bw’abantu
– Poloti z’abantu, ezabuukitirwa kasasiro
– ssaako n’enju z’abatuuze, ezayingiramu amazzi.
Kinnajjukirwa nti Kasasiro w’e Kiteezi yabuutikira abatuuze mu August, 2024, nga n’okutuusa kati, bangi bakyabanja akasente kaabwe.
Okusinzira ku Direkita wa KCCA, Sharifah Buzeki
– Abantu 18 abamenyebwa amayumba nga bagezaako okuyisaawo Tulakita, basasulwa dda ssente zaabwe.
– Abantu 34, ng’ennyumba zaziikibwa kasasiro, omubalirizi w’ebitabo bya Gavumenti, yamala okubalirira era balinze ssente, basasulwe.
– Abantu 70, abalina amayumba agayingiramu amazzi, n’abo, omubalirizi w’ebitabo bya Gavumenti akyabalirira ssente meka zebalina okufuna.
– Waliwo n’abantu 8 nga Puloti tekwaliko kintu kyonna, ensonga yabwe, bagyekeneenya.
Buzeki asabye abatuuze b’omu Kiteezi okusigala nga bali bakakamu nnyo kuba ensonga yaabwe ekolebwako.