Poliisi etandiise okunoonyereza kabenje, akasse abantu 19, ate 13 ne batwalibwa malwaliro nga bali mu mbeera mbi.
Akabenje kano, kabadde mu bitundu bya Albertine ku ssaawa nga 5 ez’ekiro ku kyalo Kigorobya ku luguudo lwe Hoima-Bulisa.
Akabenje kavudde ku mmotoka ekika kya ‘Fuso Fighter’ namba UBB 639W ebadde atambuza abasuubuzi okuva mu katale k’e Wanseko-Buliisa.
Okunoonyereza kulaga nti emmotoka yalemereddwa okulinnya akasozi k’e Kigorobya neyefuula emirundi egy’enjawulo ekyavuddeko abantu 19 okufiirawo ate 13, ne batwalibwa malwaliro nga bataawa.

Emirambo gyona, gitwaliddwa mu ggwanika e Hoima, okwekebejjebwa.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi y’ebidduka mu ggwanga SP Kananura Micheal, okunoonyereza kutandiise – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=93s