Amawulire agaliwo galaga nti Mary Busingye Karoro Okurut afudde.
Karoro Okurut yazaalibwa nga 8, December, 1954 era afudde akawungeezi ka leero ku myaka 71.
Karoro Okurut, abadde mukyala munnabyanjigiriza, munnabyabufuzi era yaliko Minisita wa guno na guli mu offiisi ya Ssaabaminisita.
Yalondebwa mu kifo ekyo, 6 June 2016.
Okuva nga 1, March, 2015 okutuusa 6 June 2016, yali Minisita w’ebyokwerinda nga yadda mu bigere bya Wilson Muruli Mukasa.
Wakati wa 2012 ne 2015, yali minisita avunaanyizibwa ku kikula ky’abantu, nga yadda mu bigere bya Syda Bumba.
Omugenzi abadde wa National resistance movement era yaliko omubaka omukyala ow’e Bushenyi.
Mu 2021, yawangulwa Annet Katusiime Mugisha ku ky’omubaka omukyala e Bushenyi.
Yaliko omusomesa ku Yunivasite e Makerere ng’asomesa Literature mu 1981 era asobodde okuwereza mu bifo eby’enjawulo – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=94s
Download the Galaxy FM 100.2 App and listen to the radio while on the move.