Poliisi e Mubende eri mu kunoonya omutemu, eyasse omwana omuwala myaka 16 oluvanyuma lw’okumusobyako.
Okunoonyereza kulaga nti olunnaku olw’eggulo ku ssaawa nga 10:00 ez’akawungeezi, ku kyalo Nakigando East mu ggoombolola y’e Kiyuni mu disitulikiti y’e Mubende, omutemu, yasobodde okweyambisa gw’enkuba eyabadde etonnya, okutta omuwala.
Ku ssaawa 9:30 ez’akawungeezi, nnyina w’omwana yavudde awaka okugenda eri ssezaala we era mu kaseera ako, enkuba, yatandikiddewo.
Omutemu kati aliira ku nsiko, yasobodde okweyambisa omukisa gwo, ng’omwana ali yekka awaka, wakati mu nkuba eyabadde efuddemba, okuyingirira omwana okumusobyako, oluvanyuma yamusaze obulago enfunda eziwera.
Omutemu yaddukidde mu nkuba era nnyina yagenze okudda awaka, nga muwala we yattiddwa dda, ali mu kitaba kya musaayi.
Yakubye enduulu, eyasombodde abatuuze ssaako n’okuyita Poliisi, okuyambako mu kunoonya omutemu.
Racheal Kawala, omwogezi wa Poliisi mu kitundu kye Wamala, agamba nti okunoonya omutemu, kutandikiddewo nga n’omulambo gwasindikiddwa mu ddwaaliro e Mubende okwekebejjebwa – https://www.youtube.com/watch?v=YolFbiHutjI&t=127s