Abayimbi bakooye ejjoogo, ‘mukomye oluzungu lwamwe’
Bannabitone, basabye Palamenti okubaako enkyukakyuka ezikolebwa mu tteeka erifuga ebiyiiye erya Copyright and Neighbouring Rights Act, 2006.
Bano okuli aba Uganda Performing Rights Society – UPRS ne Uganda National Musicians Federation (UNMF), bakedde mu kakiiko ka Palamenti akalondoola ebyamateeka, akabadde kakubirizibwa amyuka ssentebe waako John Teira.

Aba UPRS nga bakulembeddwamu akulira olukiiko olufuzi Martin Nkoyooyo amanyikiddwa nga Yoyo era ezimu ku nkyukakyuka zebetaaga mwe muli
– Bawakanya eky’okuwandiisa ebiyiiye byabwe okufuna layisinsi eraga obwanannyini, nga bagamba nti kyetaagisa ssente, okuwandiisibwa nga tekirina kuba kyabuwaze.
– Bawakanya eky’okusiba emyaka 10 oba okuwa engasi yabukadde 50 singa olukiiko olufuzi, balemwa okutuuza olukiiko lwa buli mwaka, okulaga entambuza y’emirimu n’ensasaanya.
Bagamba nti emirimu gye bakola gya bwereere, bwannakyewa nga kiswaza ate okubasaako obukwakulizo obusukkiridde omuli n’okubasiba.
Ate aba Sheebah Kalungi, yakulembeddemu aba Uganda National Musicians Federation ku lwa pulezidenti we Eddy Kenzo atabaddewo.
Nga bayita mwakulira okunoonyereza mu kibiina kyabwe Martin Muhumuza, asabye bakyuseemuko ku bigambo ebikozesebwa nga bawandiika etteeka lyabwe, nga bangi ku bannabitone, tebategeera luzungu lusukkiridde.
Ku kakiiko, ababaka nga bakulembeddwamu Asuman Basaalirwa, omubaka wa Monisipaali y’e Bugiri, basuubiza okwekeneenya okusaba kwabwe.
Abayimbi bakooye ejjoogo, ‘mukomye oluzungu lwamwe’- https://www.youtube.com/watch?v=ewB5PledrA0&t=10s