Poliisi mu Kampala eri mu kunoonya asikaali, eyasse mukamaawe omusuubuzi Anthony Mutinisa, akawungeezi k’olunnaku olwaleero ku Ssande ku offiisi ze ku kyalo Ntinda Ministers.
Mutinisa myaka 53, abadde Direkita wa Mutinisa Motors and driving School, ng’abadde mutuuze we Bulindo mu Monicipaali y’e Kira.
Asikaali Byaruhanga Hillary myaka 28 okuva mu Don world Security abadde akuuma ekifo, yamwefuulidde, namukuba amasasi.
Oluvanyuma lw’okumutta, yasobodde okweyambisa emmotoka y’omugenzi namba UA 769BQ ssaako n’ekisawo, ekigambibwa nti kyabaddemu ssente okudduka.
Emmundu ekika kya SAR eyakozeseddwa okutta Mutinisa yazuuliddwa.
Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti okunoonya omutemu kukyagenda mu maaso.
Agamba nti omulambo gwasindikiddwa mu ddwaaliro e Mulago okwekebejjebwa – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=235s