Sipiika wa Palamenti Anita Among, ayongedde okulaga nti ddala mu Uganda alina obuwagizi okuva kumpi mu ggwanga lyonna.
Mu ttabamiruka wa NRM e Kololo, Among awangudde Rebecca Alitwala Kadaga, ku ky’okumyuka ssentebe w’ekibiina ki NRM omukyala.

Okusinzira ku birangiriddwa ssentebe akulira eby’okulonda mu NRM, Dr Tanga Odoi, Among afunye obululu 11,680 ate Kadaga obululu 902.
Dr Tanga Odoi agamba nti abalonzi baabadde 12,582.
ABALINZE OKULAYIRA MU NRM
EKIFO | OKUVUGANYA | OBULULU |
NRM CEC 2nd National Vice chairperson – Female | Rt. Hon. Anita Among | 11,680 (92%) |
Rt. Hon. Rebecca Alitwala Kadaga | 902 (7.2%) |
ABALINZE OKULAYIRA MU NRM
EKIFO | OMUWANGUZI | OBULULU |
NRM Vice chairperson for Eastern region | Calvin Martin Echodu | 5,211(99.5%) |
NRM Vice chairperson for Karamoja | Loki JohnBaptist | 3,694(81%) |
NRM Vice chairperson for Northern Uganda | Dennis Hamson Obua | 3,591(67%) |
NRM Vice chairperson for Western region | Asiimwe Jonard | 4,044(58%) |
NRM Vice chairperson for Kampala region | Salim Saad Uhuru | 2,411(63%) |
NRM Vice chairperson for Central region | Haruna Kyeyune Kasolo | 4,194 (50.3%) |