Dr. Kizza Besigye ne munna Hajji Obeid Lutale bagaanye okulabikako mu kkooti enkulu mu Kampala, okutandiika okuwulira emisango gyabwe.
Besigye ali ku misango gy’okulya mu nsi olukwe n’okumanya ku misango egyo ne basirika wakati wa 2023 – November, 2024 ng’ali ne Hajji Obeid Lutale, ssaako munnamaggye Capt Dennis Oola.
Enkya ya leero, babadde basuubirwa mu maaso g’omulamuzi Emmanuel Baguma ng’oludda oluwaabi, lukulembeddwamu amyuka ssaabawaabi wa Gavumenti Lino Anguzu n’abawaabi abalala Thomas Jatiko, Richard Birivumbuka ne Joseph Kyomuhendo.
Ate bannnamateeka ba Besigye ne Lutale nga balulembeddwamu munnamateeka okuva mu ggwanga erya Kenya Martha Karua, omuloodi wa Kampala Elias Lukwago ne Ernest Kalibbala.
Ku lwa Gavumenti, Lino Anguzu asabye abasirikale okuva e Luzira, lwaki Besigye ne Lutale tebali mu kkooti.
Wabula omulamuzi wa kkooti Baguma asobodde okusoma ebbaluwa 2 okuli eya Besigye ne Lutale nga ziwandikiddwa n’omukono okutegeeza nti Besigye tali bulungi (Un well) ne Lutale taliwo, okuba nga bajja mu kkooti ate Capt Oola aleeteddwa.
Olw’embeera eyo, omulamuzi ayongezaayo okutandiika okuwulira emisango gyonna okutuusa nga 1, October, 2025.
Wabula omuloodi Ssalongo Erias Lukwago, agamba nti Besigye ne Lutale boongedde okulaga nti sibetegefu okudda mu maaso g’omulamuzi Baguma kuba yalaga nti alimu kyekubira mu ntambuza y’omusango – https://www.youtube.com/watch?v=8VasV-edtiA