Wuuno omukyala omulema Nabukeera Florence, nga mutuuze we Kasubi Zone 4, asobeddwa oluvanyuma lwa Kampala Capital City Authority (KCCA) okutwala emmali ye.
Nabukeera, nga mukyala mulema, bba Umar Mugabe, yadduka mu biseera by’okulwanyisa Covid-19, nga yakamuzaalira abaana 4 kyokka mu kiseera kino abaana 2 bebakafa.

Bba yagenda okudduka nga tamanyi gy’azaalibwa era abaana baziikibwa wa mwanyina.
Agamba nti olwa bba okudduka, embeera yatabuka nga y’emu ku nsonga lwaki yava mu nnyumba mwe baali bapangisa e Salaam, Makindye olwa Landiloodi okubagoba era yalina kudda wa mwanyina.

Wakati mu kunoonya 100, yasalawo okudda ku nguudo, okutunda obutambala, okunoonya ssente okutambuza obulamu n’okulabirira abaana.
Alumiriza abakwasa amateeka mu KCCA okutwala emmali ye, era okuva olwo, obulamu bwadobonkana nga taddangamu kufuna Kapito.
Mu kiseera kino, waliwo omukyala eyamusenza mu makaage e Kasubi nga y’emu ku nsonga lwaki avuddeyo okusaba ku buyambi, asobole okuzaawo Kapito, addemu akole, asobole okwebezaawo.

Yetaaga okufuna
– Ennyumba okuddamu okupangisa
– Abaana okudda ku massomero
– Okufuna Kapito, okutandiika omulimu
– Okufuna eky’okulya
Mu kiseera kino, bambi omuntu yenna ng’alina obuyambi, okusobola okutaasa omukyala ku 0757478127 (Kyeyune Steven) – https://www.youtube.com/watch?v=4IjJyDLw9aU&t=31s