Bannakibiina ki National Unity Platform (NUP), batabukidde ekitongole ekitamuzi okuyingiza eby’obufuzi mu nsonga z’amateeka.
Bano, nga bakulembeddwamu ssaabawandiisi w’ekibiina ki NUP, David Lewis Rubongoya, wali ku kitebe kyabwe e Makerere-Kavule, bagamba nti abasibe bannakibiina okuli
– Anothony Agaba aka Bobi Young
– Ssekitoleko Yasin aka Machete n’abalala, balemeddeko mu kkomera, olwa kkooti, okudda mu kuzannya katemba.
Bagamba nti bw’ekiba kkooti ensukkulumu yaggyawo kkooti y’amaggye mu January 2025, neragira emisango gyonna okutwalibwa mu kkooti za bulijjo ate lwaki abalamuzi batya okuyimbula abantu baabwe, nga bekwasa nti emisango gikyali wansi wa kkooti y’amaggye.
Bagamba nti, bakoze kyonna ekisoboka okutaasa abantu baabwe kyokka Gavumenti esukkiridde okubalemesa, nga basigadde bebuuza, bakole ki, okutaasa abantu baabwe, abali mu kuvundira makkomera.
Ate ku nsonga ya
– Eddy Sebuufu amanyikiddwa nga Eddi Mutwe
– Achileo Kivumbi
– Mugumya Gaddafi
– Grace Wakabi, abavunaanibwa emisango gy’okukuba bannamawulire n’okubba akasimu ssaako n’esweta, bwe baali mu kuziika mu Disitulikiti y’e Lwengo nga 18, May, 2024, bannamateeka bagamba nti bagenda kuddayo mu kkooti enkulu e Masaka, okusabira abantu baabwe okweyimirirwa.
Bagamba nti wadde omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka, Fatumah Nanziri yagoba okusaba okwasooka, nalagira emisango gyabwe okuwulirwa mu bwangu, n’okutuusa kati, tewali kyakoleddwa, okusaawo olunnaku nga y’emu ku nsonga lwaki, bagenda kusaayo okusaba okulala wiiki eno – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=247s