Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Nakawa Daphine Ayebare, ayongezaayo emisango egivunaanibwa, omusirikale Nixon Agasirwe n’eyali omuyambi wa Poliisi, Abdul-Noor Ssemujju amanyikiddwa nga Minaana, okutuusa nga 24, September, 2025.
Bonna 2, bali ku misango gy’okutta eyali omuwaabi wa government Joan Kagezi Namazzi mu 2015.

Okunoonyereza kulaga nti nga 30, March, 2015 e Kiwatule mu Nakawa, Kampala, Agasirwe, Minaana ne banne abakyaliira ku nsiko, benyigira mu kutta Kagezi nga yakubwa amasasi.
Wabula mu kkooti, Nixon Agasirwe asabye Gavumenti okumuyimbula bunambiro bw’ekiba nga yakamala ku limanda ennaku 105 kyokka bakyalemeddwa okumusindika mu kkooti enkulu, okwewozaako, ekintu ekityoboola eddembe ly’obuntu.

Ate Minaana, agamba nti Gavumenti ekyalemeddwa okusiba abantu abatuufu ne badda mu kutulugunya bbo.
Ate akuliriddemu oludda oluwaabi, Richard Birivumbuka agamba nti wadde bakamala emyaka 10 nga bakyanoonyereza ku misango egyo, okunoonyereza kukyagenda mu maaso.
Ajjukiza abavunaanibwa, nti ng’oludda oluwaabi, sseemateeka abawa ebbanga lya myezi 6, okulaba nga basindikibwa ku limanda, nga bakyalina obudde, okutekateeka obulungi obujjulizi bwabwe.
Ensonga ezo, omulamuzi kwasinzidde, okubaza ku limanda okutuusa nga 24, September, 2025 – https://www.youtube.com/watch?v=Gf7uDphrEwM