Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) akooye omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago era agamba nti Kampala yetaaga enkyukakyuka mu bukulembeze.
Kyagulanyi asobodde okuleeta musajja we Eng Ronald Balimwezo Nsubuga, okulemberamu ekibiina ki NUP ku bwa Loodi Meeya bwa Kampala mu kulonda kwa 2026.

Agamba nti Balimwezo musajja mugezi nnyo era balina essuubi nti singa Bannakampala bamukwasa obuyinza, agenda kukola ennyo okukulaakulana ekibuga.

Ate Eng Balimwezo agamba nti singa akwata obukulembeze, alina ensonga enkulu, zalina okutandikirako omuli
- Ensonga y’okukola enguudo n’okukendeza omugoteko gw’ebidduka
- Okulwanyisa ensonga y’ebbula ly’emirimu
- Kasasiro mu Kampala
- Okulwanyisa enguzi n’ensonga endala
Ku bwa Loodi meeya 2026, Balimwezo agenda kuttunka n’abantu ab’enjawulo omuli - Erias Lukwago owa People’s Front for Freedom (PFF)
- Nabilah Naggayi Sempala, talina kibiina.
- Beatrice Mao, mukyala wa Norbert Mao wa Democratic Party (DP)
- Nsubuga Kizito Moses owa National Resistance Movement (NRM).