Bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) abalala 5, baguddwako emisango emikambwe, ne bagattibwa ku Eddie Mutwe ssaako ne Achileo Kivumbi era kati bali Luzira.

Abagatiddwa ku misango kuliko

Tasi Calvin amanyikiddwa nga Bobi Giant

– Sserunkuma Edwin amanyikidda nga  Eddie King Kabenja

– Lukenge Sharif

– Nyanzi Yassin

– Kaweesi Tonny

Okunoonyereza kulaga nti nga 12, February, 2025, webaali bajjaguza amazaalibwa ga Pulezidenti w’ekibiina ki NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), bakola Pareedi y’ekinnamaggye eyali mu ngeri emenya amateeka ku kitebe ky’ekibiina ki NUP, Makerere- Kavule.

Mu kusooka, emisango gibaddeko Eddie Mutwe and Achileo Kivumbi, okuva nga 14, August, 2025, lwe basimbibwa mu kkooti e esookerwako e Kanyanya, Kawempe

Wabula bonna mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esookerwako, Agumasiimwe Damalie begaanye emisango gyonna.

Kati bonna 7, basindikiddwa ku limanda e Luzira okutuusa nga 29, September, 2025.

Mungeri y’emu bannamateeka babasibe okuli Shamim Malende, bavumiridde ku mbeera ebadde ku kkooti, omuli okulemesa abantu baabwe okuyingira, olw’abasirikale abasukkiridde.

Ate Joel Ssenyonyi, akulira oludda oluvuganya, atabukidde omuwaabi wa Gavumenti Sharon Nambuya, okugamba nti ebyokwerinda binywezeddwa okutangira obutujju ssaako n’engeri omumyuka w’omwogezi w’ekibiina ki NUP, Waiswa Alex Mufumbiro engeri gyawambiddwa abasirikale mu mmotoka ya Noah – https://www.youtube.com/watch?v=4IjJyDLw9aU&t=32s