Poliisi e Mukono, erabudde abavubuka abasuubira okutaataganya okulonda okubindabinda okwa 2026, nti bonna tewali kubattira ku liiso era tewali muntu yenna, gwe bagenda kuwa bbondi, okutuusa ng’okulonda kuwedde.

Okusinzira ku mukwanagana wa Poliisi n’omuntu wa bulijjo mu disitulikiti y’e Mukono, Shafik Kasujja, abavubuka

– Bali mu kutekateeka ggaali

– Waliwo abookya ebipiira

– Okulemesa abasuubuzi okukola emirimu gyabwe

– Ababbira mu bibinja mu biseera bya Kampeyini

– Aba bodaboda abavugisa ekimama nga bali mu Kampeyini n’ebikolobero ebirala.

Kasujja agamba nti ku mulundi guno, tewali muntu yenna agenda kuyimbulwa mu biseera bya Kampeyini, ng’omuntu yenna singa akwatibwa, wakulondera mu kkomera.

Bw’abadde ku mokolo gw’okutongoza enkola y’okwegata nga banna Mukono, ku mbuga y’essaza Kyaggwe, Kasujja abadde mukambwe ddala ku nsonga z’effujjo.

Bino okubyogera nga Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) agamba nti okuwangula okulonda kwa 2026, bannakibiina balina okuzimba eggaali.

Bobi Wine agamba nti bannayuganda balina okuvaayo mu bungi okulonda kyokka oluvanyuma lw’okulonda, eggaali zirina okukuuma akalulu, okutangira omuntu yenna ayinza okwenyigira mu kubba akalulu kaabwe.

Eddoboozi lya Kasujja

Wabula Poliisi egamba nti kikafuuwe, eggaali yonna okwenyigira mu by’okulonda kwa 2026 – https://www.youtube.com/watch?v=4IjJyDLw9aU&t=32s