N’okutuusa kati, omukyala Saudah Madaada, omu ku besimbyewo ku bwa Kansala omukyala Kampala Central, akyali mu kaduukulu ka Poliisi, bwe yakwatiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, bwe yabadde agenda mu ggwanga erya Kenya mu kibuga Nairobi.
Yakwatiddwa ku ssaawa nga 12 ez’akawungeezi, abasajja nga bali mu ngoye eza bulijjo nga bali mu mmotoka ekika kya Toyota Premio.
Okusinzira ku Ssaabawandiisi w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) David Lewis Rubongoya, yafunye amawulire nti Madaada wadde akuumibwa ku Poliisi e Busia, alina emisango ku Poliisi e Wandegeya era bali mu ntekateeka, okuleetebwa mu Kampala.
Wadde yabadde amaze okusunsulwa, okuvuganya ku bwa Kansala nga talina kibiina, y’omu ku baludde mu kibiina ki NUP era abaludde nga bakuumi ba Pulezidenti w’ekibiina Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine).
Mu kiseera nga bannakibiina bakyebuuza lwaki Madaada yakwatiddwa, waliwo ebigambibwa nti ayinza okugattibwa ku bannakibiina, abakuumi ba Bobi Wine abali e Luzira ku misango gy’okukola Paleedi mu ngeri emenya amateeka.
Abasibe abalala abali e Luzira kuliko
Eddie Mutwe
Achileo Kivumbi
Tasi Calvin amanyikiddwa nga Bobi Giant
Sserunkuma Edwin amanyikidda nga Eddie King Kabenja
Lukenge Sharif
Nyanzi Yassin
Kaweesi Tonny
Kigambibwa nga 12, February, 2025, webaali bajjaguza amazaalibwa ga Bobi Wine, baakola Paleedi y’ekinnamaggye eyali mu ngeri emenya amateeka ku kitebe ky’ekibiina ki NUP, Makerere- Kavule – https://www.youtube.com/watch?v=_KIssLpgC-s