Kyaddaki omusajja omutembeeyi wa Switi mu Kampala, Kizza Nicholus akwatiddwa ku misango gy’okutta mukyala we Nuwamanya Christine myaka 29 ssaako n’omwana waabwe myezi 8.
Kizza yatta mukyala we n’omwana mu zzooni ya Israel- Matovu mu Divizoni y’e Makindye, emirambo nagisibira mu nnyumba wabula olw’ekivundu, abatuuze bazuula emirambo nga wayise ennaku 4, nga 22, August, 2025.
Omusajja ono omutemu Kizza, yasangiddwa nga yawasa dda omukyala omulala mu disitulikiti y’e Mukono bali mu laavu era agamba nti yatta mukyala we Nuwamanya wadde yali amwagala nnyo, oluvanyuma lw’okumusanga n’omusajja omulala mu nnyumba nga bali mu kwesa mpiki ng’atumbudde akayimba, ‘Munda Dala’ aka Nina Roz.
Kizza agamba nti olw’embeera gye yalimu, ng’omukyala ali mu kaboozi n’omusajja omulala, y’emu ku nsonga lwaki yalinda ekiro, okutta omukyala nga yali alina n’okutta omwana kuba yali talina gy’agenda kutwala mwana omuto.
Mu kiseera kino, abatuuze mu zzooni y’e Israel- Matovu gye yattira omukyala, bagamba nti Kizza agwana kuttibwa nga kiswaza okutta abantu – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=247s
Download the Galaxy FM 100.2 App and listen to the radio while on the move.