Palamenti eyingidde mu nsonga z’abawala abakukusibwa okutwalibwa mu kibuga Dubai, ne basindikirizibwa okwetunda.

Okusinzira kunoonyereza okwakoleddwa omukutu gwa BBC mu ggwanga lya Bungereza,

– Waliwo munnayuganda Charle Mwesigwa eyali ddereeva mu kibuga London ekya Bungereza okutuusa 2006, akulembeddemu okukusa bannayuganda ne batwalibwa e Dubia okwetunda.

– Okunoonyereza Mwesigwa agamba nti singa omuntu yenna aba alina ssente, asobola okufuna abawala omuwendo gweyetaaga, okwesa empiki.

Mwesigwa nga musajja Munnayuganda, asuubiza abawala bannayuganda ebintu eby’enjawulo omuli okufuna emirimu mu Dubia mu Resitolanti.

Olw’embeera abawala gye bayisibwamu eswaza wakati nga bakozesebwa, yavaako n’omuwala Monica Karungi eyali ava mu Western Uganda okwetta nga 1 May 2022 nga yekyaye era nga yawanuka waggulu ku kizimbe ne yetta.

Okunoonyereza era kulaze nti buli muwala atuuka mu Dubai, bamuwa eby’okulya, okumutwalako mu Hoteero ez’omulembe era kati abawala abakunukiriza 30, bakyali mu Dubia olwa Mwesiga okubategeeza nti yabasaamu ssente ze obukadde 20 omuli okubatwala e Dubia nga omuwala yenna alina okwetunda ennyo, okufuna ssente ze, era bangi bakyali yo.

-Omuwala yenna okusobezebwako abasajja abasukka mw’omu n’okukolako ebyensonyi- 14,311,430

– Omuwala omu, buli kiro – 3,504,268 wabula bw’oba oyagala okukola ebyensonyi, ssente zeyongerako.

Mwesigwa agamba nti abasajja abagula abawala, banyumirwa nnyo okulaba abawala nga bakaaba, balajjana, balya empita mbi n’okubafukira.

Vidiyo – https://www.youtube.com/watch?v=OboT09uRw6M

Kati eno, ensonga eno, etuuse mu Palamenti akawungeezi ka leero era ababaka ne basaba Gavumenti okwenyigiramu okunoonyereza okulaba ng’abasajja bonna abali mu bikolwa ebyo, bawawabirwa.

Bano, okuli

Sarah Opendi Achieng – Omubaka omukyala owa Tororo

Joel Ssenyonyi – Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti

Muwanda Nkunyingi – Omubaka wa Kyadondo East

Ibrahim Ssemujju Nganda – Omubaka wa Kira

David Bahati – Minisita omubeezi ow’amakolero

Thomas Tayebwa – Amyuka sipiika wa Palamenti, n’abalala, bagamba nti kiswaza Gavumenti okuvaayo okwefuula nti efaayo ku nsonga z’abavubuka, nga bangi bafuluma eggwanga nga balaba ne bazza mirambo – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=249s