Bamukwata mmundu basse abantu 22 ku mukolo gw’okubatiza abaana mu ggwanga lya Niger.
Okusinzira ku batuuze nga bakulembeddwamu omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu Maikoul Zodi, abantu 15 battiddwa mu bitundu bye Tillabéri ku nsalo ya Mali ne Burkina Faso kyokka wakati mu kudduka, ne batta abalala musanvu (7).
Kigambibwa abatemu bava mu kabinja al-Qaeda oba Islamic State era kiteeberezebwa nti omuwendo gw’abantu abattiddwa, basukka 22.
Agava mu Niger, galaga nti omuwendo gw’abatujju gweyongedde okutta abantu nga okuva mu March, 2025, abantu abasukka mu 127 battiddwa mu byalo eby’enjawulo, enju zikumiddwako omuliro n’okubba ebintu byabwe.
Mu kiseera kino munnamaggye Gen Abdourahmane Tchiani, ye Pulezidenti w’eggwanga okuva nga 26 March 2025 mu butongole oluvanyuma lw’okuwamba obuyinza nga 26, July, 2023 – https://www.youtube.com/watch?v=YolFbiHutjI&t=130s

Source: BBC